Masaza Cup: Enkambi ya Bulemeezi bagiyiyeemu ensimbi
Dec 21, 2021
ENKAMBI ya Bulemeezi yeeyongeddemu ebbugumu oluvannyuma lw'abakungu baayo okukyalira abazannyi baabwe mu nkambi ne babayiwamu ssente.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Moses Kigongo
Masaza Cup
Busiro - Bulemeezi 6:00
ENKAMBI ya Bulemeezi yeeyongeddemu ebbugumu oluvannyuma lw'abakungu baayo okukyalira abazannyi baabwe mu nkambi ne babayiwamu ssente.
Abakungu bano bakulembeddwaamu omubaka wa Nakaseke Central, Allan Mayanja Ssebunya ne basasula abazannyi baabwe ensako ya bukadde 3 (gye babadde babanja olw'okubeera mu nkambi e Njeru) wamu n'okubongera ebikozesebwa omuli: ebyokulya n'okunywa olwa kye baayise okubazzaamu amaanyi bawangule ensiike yaleero (mwe bagenda okuttunkira ne Busiro) ku quarter finals.
Bano era beeyamye okwongera okuwa abazannyi akasiimo ka ddoola 1,000 ssinga bayitawo ku semi ez'omulundi guno.
Bulemeezi yaakuttunka ne Busiro ku ssaawa 6:00 ez'emisana mu gumu ku mupiira ogusuubirwa okubeeramu ebbugumu olwa buli ludda okubeera n'ababaka ba palamenti abaziteekamu ensimbi.
Ttiimu ya Busiro evujjirirwa omubaka wa Busiro North Paul Nsubuga, ate Bulemeezi evujjirirwa ababaka okuli; Allan Ssebunya, Sarah Najjuma ne Brenda Nabukenya (owa Luweero).
No Comment