FIFA U20 Women’s World Cup Qualifiers 2022
Uganda – Ghana, Kitende
Eno ye laawundi eyookuna ey’ezokusunsulamu zino, Uganda y’esooka okukyaza Ghana ku Lwomukaaga (January 22, 2022) ku kisaawe kya St. Mary’s Kitende, ate badding’ane omwezi ogujja (February 5,2022).
Uganda okutuuka ku mutendera guno yaggyeemu South Africa ku mugatte gwa ggoolo (1-0) oluvannyuma lw’okuwangula ensiike eyasooka e Kitende(1-0) eyateebwa Hadijah Nandago ate ogw’okudding’ana gwaggweera mu maliri ga (0-0) ku kisaawe kya Dawsonville Stadium mu kibuga Johannesburg ekya South Africa.
Ghana okutuuka ku mutendera guno yaggyeemu Zambia ku mugatte gwa ggoolo (1-0) gye yateeba mu nsiike ey’okudding’ana oluvannyuma lw’eyasooka okuggweera mu maliri ga (0-0).
Ku Lwakubiri (January 4, 2022) ttiimu yayingidde enkambi ku woteeri ya Paradise e Kisaawe gy’ejja okuva buli lunaku okutendekebwa ku kisaawe kya MTN Omondi e Lugogo. Ssinga Uganda eyita ku mutendera guno, ejja kuttunka n’awangula wakati wa Tanzania ne Ethiopia ku laawundi esembayo.
Ensi bbiri zokka ze zirina okukiikirira olukalu lw’Africa, mu z’ensi yonna (FIFA U20 Women’s World Cup) anabeera e Costa Rica wakati wa August 10 ne 28, 2022.

Fauzia Najjemba Ku Ddyo Ng'attunka N'owa South Africa (2)
Abali mu nkambi;
Mu ggoolo; Daphine Nyayenga (Lady Doves FC), Joan Namusisi (Kampala Queens FC), Diana Natukunda (Kawempe Muslim Ladies FC) ne Saida Namwanje (Luweero Giant Queens FC).
Abazibizi; Sumayah Komuntale (Tooro Queens FC), Biira Nadunga ne Grace Aluka (aba Olila High School FC), Samalie Nakacwa, Aisha Nantongo, Asia Nakibuuka (aba Kawempe Muslim Ladies FC), Harima Kanyago (Lady Doves FC) ne Winnie Nakanwagi (Uganda Martyrs High School FC).
Abawuwuttanyi; Shamirah Nalugya, Shakirah Nyinagahirwa ne Margaret Kunihira (aba Kawempe Muslim Ladies FC), Phiona Nabulime (Devine Soccer Academy), Catherine Nagadya ne Kevin Nakacwa (aba Uganda Martyrs High School), Zaituni Namaganda (Taggy High School FC) ne Eva Naggayi (Rines SS WFC).
Abateebi; Fauzia Najjemba ne Lillian Mutuuzo (aba Kampala Queens FC)
Hadijah Nandago (Kawempe Muslim Ladies FC), Juliet Nalukenge (Chrysomolia FC), Joweria Nagadya (Lady Doves FC), Kamuyati Naigaga (Taggy High School), Ronah Regina Nantege (She Corporate FC), Zaina Nandede (Kataka SHE FC),
Abakungu;
Ayub Khalifa Kiyingi(mutendesi), Oliver Mbekeka(mumyuka), Mubarak Kiberu(wa baggoolokippa), Arthur Kyesimira(wa dduyiro), Joan Namusisi(mutabaganya), Cissy Nakiguba(Maneja), Mable Kabatalindwa(musawo) ne Alex Kasirye(Mawulire).