Kivudde ku kusalawo wakati wa UBF ekibiina ekitwala ebikonde mu ggwanga n’akakiiko ka NCS akakulira emizannyo mu ggwanga okutwala abaggunzi b’enguumi bokka abazannya mu liigi y’eggwanga eya UBF Boxing Champions League.
Kinajjukirwa Shadir ne banne baazira okuzannya mu liigi eno ate nga mwe mugenda okulondebwa ttiimu enaakikirira Uganda mu mizannyo gino egy’okuyindira mu kibuga Birmingham mu Bungereza wakati wa July 28 ne August 8.
Kitegeeza Shadir ne banne basuuliddwa.
Moses Muhangi, pulezidenti wa UBF yagambye nti teri muzannyi agenda kutwalibwa nga tazannya mu liigi n'agattako nti ekirungi Shadir ne banne baalangirira dda bwe beegasse ku kuzannya ebikonde eby’ensimbi.
Shadir, Nanziri ne Semujju be baakiikiridde Uganda mu mizannyo gya Olympics egyabadde e Japan omwaka oguwedde.