Tony Mawejje annyuse omupiira oluvannyuma lw’emyaka 19 ng’azannya mu kiraabu ez’enjawulo. Mawejje, abadde kapiteeni wa Police FC eyasaliddwaako okudda mu Big League, akoma Lwamukaaga nga Police ekyalidde bakyampiyoni (aba Vipers) mu guggalawo ‘StarTimes Uganda Premier League’.
Yagambye nti abadde akyasobola okuzannya wabula alina okulekera abazannyi abato basobole okukulaakulanya ebitone byabwe kuba omupiira tagenda kugufiirako.
Mawejje 35, yeegatta ku Police mu 2020 ng’ava mu Al-Arabi SC ey’e Kuwait ku ndagaano ya mwaka gumu kyokka COVID-19 we yajjira sizoni n’eyimirizibwa.