ABAALI bassita ba Cranes mu mpaka za Afrika eza 2017 e Libreville, Gabon beesomye okusiibula muzannyi munnaabwe Tony Mawejje mu maanyi ng’awummula omupiira mu butongole.
Kiddiridde Mawejje okulangirira mu butongole wiikendi nga bw’agenda okutegeka emipiira gy’omukwano 2 mu Kampala n’e Masaka gye yatandikira olugendo lw’omupiira.
“Ky’ekiseera mpummule omupiira, ng’enda kutandikawo akademi y’abawuwuttanyi gyentuumye “TM6 Box ku Box midfielders’ Academy’ era emipiira 2 gye ntegese gya kusiibulirako abawagizi bange,” Mawejje bwe yategeezezza.
Be yazannya nabo bawera

Hassan Wasswa
Hassan Wasswa Mawanda; “Omulundi gwe nasooka okuzannya ne Mawejje, twali ku ttiimu ya ggwanga ey’abatasussa myaka 19, nnali nzannyira Ssaza lya Buddu era yanzizzaamu nnyo amaanyi nti nja kusobola omupiira, ebigambo bino byangumya era nkimanyi abazannyi bangi abamuyigiddeko ebintu ewerako, nsaba ffenna tweyiwe mu bungi tuwagire ssiniya waffe okutandika akademi n’okuwummula omupiira mu kitiibwa,”.
Cranes eyazannya AFCON 2017.
Mu ggoolo; Dennis Onyango, Salim Magoola, Robert Odongkara, Abazibizi; Denis Iguma, Godfrey Walusimbi, Isaac Isinde, Joseph Ochaya, Murushid Jjuuko, Nicholas Wadada, Timothy Awany, Abawuwuttanyi; Farouk Miya, Geoffrey Baba Kizito, Hassan Wasswa Mawanda, Khalid Aucho, Mike Azira, Moses Oloya, Shafik Batambuze, Tonny Mawejje, William Luwaga Kizito, Abateebi; Geoffrey Massa, Geofrey Sserunkuuna, Mohammed Shaban, Yunus Ssentamu.