Ten Hag waakulaba ogwa Crystal Palace
May 19, 2022
Erik ten Hag si waakulinda sizoni ejja kutuuka egya ManU agitandika nakulaba mupiira gugalawo sizoni.

NewVision Reporter
@NewVision
Omutendesi wa ManU omuggya, Erik ten Hag waakulaba omupiira gwa ttiimu eno oguggalawo sizoni eno ku Ssande nga bwe yeetegekera okutandika emirimu gye mu bujjuvu.
ManU ezannya Crystal Palace wabula wadde nga Ten Hag emirimu gye agitandika ku Mmande, yagambye ayagala kukozesa omupiira guno okumanya abamu ku bazannyi kye basobola okumuwa ku kisaawe bw’anaaba atandise okubatendeka.
Ralf Rangnick
Wadde ng’agenda kubeerawo, Ten Hag agamba si waakwenyigira mu nonda ya ttiimu. Waakuleka omutendesi aliwo ow’ekiseera, Ralf Rangnick amalirize emirimu gye nga tamuyingiridde.
Ng’atuuka e Bungereza ku Lwokusatu, Ten Hag yazze ne Mitchell van der Gaag amaze ebbanga ng’akola ng’omumyuka we era nga waakusigala ng’akola naye ne mu ManU.
Ten Hag ne Steve McClaren
Mu ngeri y’emu, Ten Hag ayagala ne Steve McClaren (eyakolako ne Sir Alex Ferguson) amwegatteko. McClaren yaliwo mu 1999, ManU ng’ewangula ebikopo ebisatu. Mu sizoni ya 2008-09 ng’ali mu FC Twente, Ten Hag ye yali amumyuka.
No Comment