Ten Hag atembeeya Antony ne Sancho
Nov 14, 2023
Omuzannyi ono yagulwa obukadde bwa pawundi 80 omwaka oguwedde mu Ajax kyokka okuva lwe yajja, omutindo gwe gweveera.

NewVision Reporter
@NewVision
Oluvannyuma lw’omutindo ogw’ekibogwe, omutendesi wa ManU, Erik ten Hag avudde mu mbeera n’asalawo atunde Omubrazil Antony.
Omuzannyi ono yagulwa obukadde bwa pawundi 80 omwaka oguwedde mu Ajax kyokka okuva lwe yajja, omutindo gwe gweveera. Yaakateeba ggoolo munaana mu mipiira 55, ekintu ekitabudde ManU n’esalawo okumuta banoonye omuzannyi amusingako.
Antony ye muzannyi asinga ebbeeyi kw’abo abaagulwa Ten Hag era ono waakutundibwa wamu ne Jadon Sancho ssaako Anthony Martial nabo abagambibwa nti ssente za ManU balya za bwereere. ManU eri mu kyamukaaga ku bubonero 21 mu mipiira 12.
Related Articles
No Comment