ManU ekutte olweyo

May 20, 2022

Abazannyi 10 ManU ebasenza luti.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUTENDESI wa ManU omuggya, Erik ten Hag asuubirwa okukwata olweyo agobe abazannyi abasoba mu 10 ng'omu ku kaweefube w'okugogola ttiimu eno evuganye ku bikopo sizoni ejja.

Omudaaki ono, yavudde mu Ajax nga yazze n'omumyuka we, Mitchell van der Gaag wamu ne Steve McLaren eyaliko omumyuka wa Sir Alex Ferguson.

Ensonda mu ManU zaategeezezza nti Paul Pogba y'omu ku bazannyi abasookerwako. Omufalansa ono endagaano ye eggwaako mwezi gujja ng'asuubirwa okugendera ku bwereere era Juventus ne PSG ze zimuswamye.

Pogba

Pogba

Abalala kuliko, Jesse Lingard, Juan Mata, Phil Jones, Nemanja Matic, Aaron Wan-Bissaka, Edinson Cavani, baggoolokipa Dean Henderson ne Le Grant ne Eric Bailly. Lingard asuubirwa okuddayo mu West Ham gye yayakira ng'emweyazise ku looni mu 2021, Mata ayinza okuddayo e Spain sso nga Matic yasiibula dda abawagizi ba ManU.

Lingard

Lingard

Kapiteeni Harry Maguire naye atuula matiitiiri olw'ebigambibwa nti Ten Haag ayagala kukansa omu ku bazibizi ba Ajax, Jutrien Timber oba Lisandro Martinez. Maguire abadde ne sizoni embi ng'abawagizi ba ManU babadde bamung'oola nti ensimbi zaabwe obukadde 80 ezaamugula mu Leicester zaafa ttogge.

Cavani

Cavani

ManU eri mu kyamukaaga mu Premier nga yeetaaga okuwangula Crystal Palace ku Ssande ekakase okuzannya mu Europa sizoni ejja.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});