Bawangudde ekikopo ne baweera okusitukira mu kya liigi ya hockey

Tukozesezza abazannyi bato nga tugezaako okwongera amaanyi mu ttiimu n'okulaba nga tuzimba ttiimu ennyweevu.

Ttiimu ya Weatherhead eya hockey ng'esanyukira ekikopo kye yawangudde.
By Charles Lwanga
Journalists @New Vision
#Hockey #Weatherhead #City Lions #Lugogo

Weatherhead Open (abawala);

Kakungulu 5-0 Kasasa

Mu balenzi;

SMACK A 0-3 Kakungulu

Mu bakazi;

DCU 2-0 Weatherhead Historicals

Mu basajja;

Weatherhead 3-1 City Lions

Kapiteeni wa ttiimu ya weatherhead Hoceky Club, Moses Tushabe alina essuubi nti obuwanguzi ttiimu ye bwe yafunye mu mpaka za Weatherhead Open y’omwaka guno zaakuyamba ttiimu ye okulwana okweddiza ebikopo bya liigi ne Uganda Cup bye bawangula sizoni ewedde.

“Kati amaanyi katugasse mu kuwangula kikopo kya liigi ne Uganda Cup bye twawangula omwaka oguuwedde wadde tetusuubira nti kinaaba kyangu,” Tushabe bwe yategeezezza.

Yabadde akulembedde kiraabu ye okuwangulira empaka za Weatherhead Open ng’emegga City Lions ggoolo 3-1 ku kisaawe kya Hockey e Lugogo.

Empaka za Weatherhead Open ze zaakulembedde emikolo gy’okujaguza emyaka 25 egya kiraabu ya Weatherhead bukya etandikibwawo mu 1997.

Empaka zino zikomyewo oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga tezannyibwa olwa corona era bakyampiyoni baazo abasajja bazisigazza ate mu bakazi DCU n’ewangula.

Weatherhead yakulembedde omuzannyo ng’eyita mu muzibizi Solomon Mutalya eyateebye ggoolo bbiri wabula City Lions ng’eyita mu Brian Ofoyimungu n’ateebera City Lions. Anorld Kasumba n’akuba ggoolo eyookusatu eyabawadde ekikopo.

Kapiteeni wa ttiimu ya City Lions, Mohammed Ali yasiimye banne abaazannye empaka zino ng’abasinga baavudde mu masomero.

“Tukozesezza abazannyi abato okusingira ddala abaavudde mu masomero nga tugezaako okwongera amaanyi mu ttiimu,” Mohammed Ali bwe yagambye.