SPARKS Boxing Club yafukamizza kiraabu zikirimaanyi z’ebikonde mu ggwanga bwe yaziwanguddeko empaka za National Novice Boxing Championship ez’omulundi guno.
Empaka zino Sparks yaziwangulidde ku bubonero 66 n’eddirirwa East Coast ku 61, COBAP 57, Lukanga 56 ne UPDF 44.
Kiraabu 45 ze zeetabyemu nga fayinolo yayindidde ku CFK Badminton Academy Hall ekisangibwa e Kaleerwe mu Kampala.
Muhangi n'abazannyi ba Sparks nga baakawangula.
Guno gwe mulundi Sparks Boxing Club gwesoose okuwangula empaka zino.
Empaka zino zaayindidde wiiki nnamba okuva nga November 20- 27 nga zasooka kubumbujjira ku Lugogo Hockey Grounds sso nga fayinolo yazannyiddwa ku CFK Badminton Academy Hall e Kaleerwe.