Ey'emisinde etuuse e Mauritius

Abaddusi 17 n'abakungu 5 bataka mu Mauritius gye bagenze okuvuganyiza mu misinde gya Africa Senior Athletics Championships.

Amyuka omuwandiisi wa NCS, David Katende ng'akwasa Nyamuhunge Bendera.
By Olivia Nakate
Journalists @New Vision
#Misinde #UAF #Mauritius

Ttiimu yabaddusi 17 n’abakungu bataano yatuuse dda mu ggwanga lya Mauritius gye bagenda okwetabaira mu misinde gya Africa egya Africa Senior Athletics Championships egitandika ku Lwokusatu nga 08 okutuuka nga 12, June.

Abu Mayanja avuganya mu mbiro za mmita 1,500 agamba emisinde gino asuubira okugikozesa ng’omukisa okuyitawo okukiika mu mizannyo gya Commonwealth egy’okubeera mu Bungereza wamu n’emisinde gy’ensi yonna egya World Athletics Championships egy’okubeera mu Oregon ekya America.

 

“Omulundi guno mmanyi nnina omukisa okuwangula omuddaali mu misinde gya Africa okuweesa eggwanga lyange ekitiibwa” Mayanja bwe yategeezezza.

Abu Mayanja ng'avuganya mu misinde yya Akii Bua

Abu Mayanja ng'avuganya mu misinde yya Akii Bua


Abaagenze kuliko: Jacent Nyamuhunge, Aciru Knight, Janat Chemusto, Sarah Chelangat, Chebet Rachael Zena, Josephine Lalam, Pius Adome, Adoli Heron, Osuje Emmanuel,Mayanja Abu, Tom Dradiga, Ali Chebrus , Ezekiel Chemutai, Emmanuel Otim ne Godfrey Chanwengo nga ttiimu yakuduumirwa Shida Leni ne Benson Okot.


Mu misinde gya Africa egisembyeyo egyali mu Asaba ekya Nigeria mu 2018, Uganda yavaayo n’emidaali esatu egy’ekikomo nga gyawangulwa Timothy Toroitich mu mbiro za mmita 10,000, Ronald Musagala mu 1500 n’omukasusi w’olunyago Josephine Lalam.