Omwami wa Kabaka e Budaaki akuutidde abayizi obutenyooma n'okwekkiririzaamu

Omwami wa Kabaka atwala essaza lya Rhineland mu Budaaki, Sam Ssekajugo akuutidde abayizi obuteenyooma, okwekkiririzaamu n’okukola ennyo lwe bajja okutuuka ku buwanguzi.

Omwami wa Kabaka e Budaaki akuutidde abayizi obutenyooma n'okwekkiririzaamu
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Budaaki #Sam Ssekajugo #St Cyprian High School

Omwami wa Kabaka atwala essaza lya Rhineland mu Budaaki, Sam Ssekajugo akueutidde abayizi obuteenyooma, okwekkiririzaamu n’okukola ennyo lwe bajja okutuuka ku buwanguzi.

Ono era abakubirizza okwagala ennyo Obwakabaka, okufaayo okumanya ebikolebwa n’okujjumbira mu by’enkulaakulaana wadde nga bakyali mu myaka emito.

Sam Ssekajugo

Sam Ssekajugo

“Nze mu kiseera ndi kyendi era nsobodde okutuuka ku buwanguzi obwenjawulo ne Ssaabasajja n’asiima nkulembere abantu be mu Bulaaya  lwa kwekkiririzaamu, okukola ennyo n’okwagala Obwakabaka,” Ssekajugo bwe yalambuludde.

Bino byabadde mu bubaka Ssekajjugo bwe yatisse Linda Ssekayita eyamukiikkiridde ku mpaka z’ebyemizaanyo ezaategekeddwa abayizi abaasomerako ku ssomero lya St Cyprian High School Kyabakadde (St Cyprian High School Kyabakadde Old Students Association) ezaatuumiddwa SCKOSA GALA 2024 mwe baavuganyirizza n’abayizi abasomerayo mu kiseera kino.

Baavuganyizza mu kudduka emisinde n’okusamba omupiira era empaka zaakomekkerezeddwa nga abayizi abakadde (abaasomerayo) baziwangudde.

Oluvannyuma abawanguzi baakwasiddwa ebirabo emidaali, ebikopo ssaako sseddume w’ente eyaweereddwaayo Ssekajugo naye eyasomerako ku ssomero lino kyokka nga teyasobodde kwetaba ku mukolo kuba ali mu Budaaki.

Abayizi baasiimye enteekateeka eno nga bagamba okufuna omukisa okusisinkana ne bannaabwe abaasomerako kuno kibawa okusoomozebwa n’amaanyi okusoma ennyo nabo basobole okufuuka abantu ab’obuvunaanyizibwa mu maaso.