Abaddusi b’embiro ennyimpi okuli: Jacent Nyamuhange ne Okot Benson bayiseewo okwesogga semi fayinolo y’embiro za mmita 100 mu misinde gyakafubutuko.
Bali mu misinde gya Africa egya Africa Senior Athletics Championships egitandise leero nga June 8, 2022 mu ggwanga lya Mauritius.
Nyamahunge addukidde sikonda 11.78 ate Benson Okot aziddukidde sikonda 10.53 okumalira mu kifo ekyokusatu nga bombi bayiseewo.
Bannayuanda abalala abayiseewo kuliko: Adoli Haron mu mbiro za mmita 400 ng’ono wakudda mu nsiike enkya ku semi fayinolo w’empaka zino ate Shida Leni naye waakudda mu nsiike mu mpaka zino mu mbiro za mmita 400.
Emisinde gino gikomekerezebwa nga June 12, 2022.
Mu misinde gya Africa egisembyeyo egyali mu Asaba ekya Nigeria mu 2018, Uganda yavaayo n’emidaali esatu egy’ekikomo nga gyawangulwa Timothy Toroitich mu mbiro za mmita 10,000, Ronald Musagala mu 1500 n’omukasusi w’olunyago Josephine Lalam.