Abawagizi bakoneddemu Crested Cranes
Jun 10, 2022
Obwedda abawagizi bayimba ennyimba ezisuuta baanabawala nga bagamba nti bambi mutuyambe mutumaleko ennaku ya ttiimu ya basajja Cranes oluvannyuma lw'okulemagana ne Niger (1-1) ku Lwokusatu mu mpaka z'okusunsula abalyetaba mu AFCON w'omwaka ogujja mu Ivory Coast.

NewVision Reporter
@NewVision
TTIIMU y'eggwanga ey'abakazi Crested Cranes yamazeeko abawagizi ennaku bwe yamezze Ethiopia ne yeesogga fayinolo y'empaka za CECAFA Women Championship.
Obwedda abawagizi bayimba ennyimba ezisuuta baanabawala nga bagamba nti bambi mutuyambe mutumaleko ennaku ya ttiimu enkulu eya Cranes oluvannyuma lw'okulemagana ne Niger ku Lwokusatu mu mpaka z'okusunsula abalyetaba mu AFCON w'omwaka ogujja mu Ivory Coast.
Magogo, pulezidenti wa FUFA ng'ayojayoja aba Crested Cranes
Kapiteeni wa ttiimu eno, Hasifah Nassuuna yagambye nti, twabadde tetwagala kuyiwayo bawagizi baffe kuba babadde n’essuubi ddene nnyo mu ffe oluvannyuma lwa ttiimu enkulu okubayiwayo.
"Ethiopia yatuwadde akaseera kazibu ennyo wabula twabadde twagala kukomya jjoogo lyaayo nti era mu AWCON tetuliiyo lwa mukisa," Nassuuna bwe yategeezezza.
Yayongeddeko nti singa si muwagizi wa 12 eyazze okutuwa obuwagizi osanga Ethiopia tetwandigikubye mu mpaka zino kuba yabadde ekalubye.
Ikwaput (wakati) ng'ayisa omupiira mu bazannyi ba Ethiopia.
Uganda yaakuttunka ne Burundi ku fayinolo y'empaka za CECAFA Women Championship ku Lwomukaaga nga bonna bava mu kibinja A era mu mupiira ogwo Uganda yamegga Burundi 4-1.
No Comment