Ayub Khalifah ayungudde ttiimu y'abato eneeyambalagana ne Mozambique
Sep 27, 2023
Mu kaseera kano ttiimu ebadde etendekebwa Arthur Kyesimira oluvannyuma lwa Khalifah okubeera ku ttiimu enkulu eyawanduse mu mpaka z’okusunsula eza 2024 Women's Africa Cup of Nations ezibadde zigenda okubeera e Morocco.

NewVision Reporter
@NewVision
NG’OMUTENDESI wa ttiimu y'eggwanga ey'omupiira gw'abakazi Crested Cranes ow’ekiseera Ayub Khalifah, yaakamala okulemwa okutuusa ttiimu eno ku luzannya oluddako mu mpaka z’okusunsula abalyetaba mu 2024 Women's Africa Cup of Nations, obwanga abuzzizza ku ttiimu y’abatasussa myaka 20 eyeetegekera okuttunka ne Mozambique.
Ttiimu eno yayingira enkambi gye buvuddeko e Njeru mu kaweefube w’okwetegekera empaka za FIFA U-20 Women’s World Cup ezigenda okubeera e Colombia omwaka ogujja.
Mu kaseera kano ttiimu ebadde etendekebwa Arthur Kyesimira oluvannyuma lwa Khalifah okubeera ku ttiimu enkulu eyawanduse mu mpaka z’okusunsula eza 2024 Women's Africa Cup of Nations ezibadde zigenda okubeera e Morocco.
Khalifah yayungula ekibinja ky’abazannyi 35 mw’anaasunsula b’agenda nabo wakati wa 6-15 omwezi ogujja e Mozambique.
Khalifah
Abamu ku bazannyi abali mu nkambi kuliko, Sharon Norah Kaidu, Cecilia Kamuli, Angella Adeke, Lillian Nakilya, Patricia Nakato, Sharifah Nakimera, Patience Nabulobi, Charity Katusiime, Rebecca Nandhengo, Desire Katisi Natooro, Harima Kanyago, Faridah Namirimu, Hasifah Namboozo, Esther Namusoke, Patricia Nayiga ne Kurusum Namutebi.
Abazannyi abalala kuliko; Phionah Nabulime, Agnes Nabukenya, Immaculate Odaru, Eva Nagayi , Kevin Nakacwa , Halimah Kampi , Dorcus Kisakye, Hadijah Nandago, Shakirah Nyinagahirwa, Allen Nassaazi, Shamusa Najjuma, Brenda Munyana, Kamiyati Naigaga, Sophia Nakiyingi, Sharon Kanyiginya, Ruth Nyakato, Catherine Nagadya ne Margaret Kunihira.
No Comment