Spurs ekubye Arsenal bbusu ku Bissouma

Jun 15, 2022

Spurs okuleeta Bissouma emukubye bbusu okuva ku kiraabu endala ezibadde zimwagala okuli; Arsenal, Aston Villa ne Everton.

NewVision Reporter
@NewVision

Omuwuwuttanyi Yves Bissouma wa kukola amaliriza okwegatta ku Spurs ng’ava mu Brighton ku bukadde bwa pawundi 25.

Bissouma 25 nzaalwa y’e Mali, ye muzannyi owookusatu okuleetebwa Spurs mu kadirisa kano oluvannyuma lw'okuleeta  goolokipa Fraser Forster ne Ivan Perisic  ku Lwokutaano oluwedde ng’akatale kaakagulwawo.

Spurs okuleeta Bissouma emukubye bbusu okuva ku kiraabu endala ezibadde zimwagala okuli; Arsenal, Aston Villa ne Everton.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});