Crested Cranes erangiriddwa
Jun 21, 2022
Lutalo alangiridde olukalala olusembayo olw'abazannyi 26 abagenda okukiikirira Uganda mu AFCON w'abakazi

NewVision Reporter
@NewVision
OMUTENDESI wa ttiimu y’abawala eya Crested Cranes, George William Lutalo asunsudde ttiimu kabiriiti egenda okuttunka mu mpaka za WAFCON e Morocco omwezi ogujja.
Bino bibadde ku kitebe kya FUFA e Mengo nga Lutalo alangirira ttiimu ey’enkomeredde esitula olunaku lwa leero okw’olekera e Morocco.
Abazannyi 26 be batwaliddwa okuli, Daizy Nakaziro, Vanessa Karungi, Ruth Aturo, Riticia Nabbosa, Joan Nabirye, Phiona Nabbumba, Shamirah Nalugya, Hasifah Nassuuna, Sheeba Zalwango, Tracy Jones Akiror, Lillian Mutuuzo, Zaina Nandede, Margaret Kunihira, Sandra Nabweteme, Fazila Ikwaput, Fauzia Najjemba, Viola Nambi, Rita Kivumbi, Joanita Ainembabazi, Asia Nakibuuka, Aisha Nantongo, Yudaya Nakayenze, Margaret Namirimu, Sumaya Komuntale, Lukia Namubiru ne Biira Nadunga.
Lutalo yagambye nti, ttiimu esimbula ekiro kya leero okw’olekera e Marrakech gy’egenda okuzannya emipiira egy’omukwano nga yakumalayo ennaku 5 nga beetegeka n’oluvannyuma bolekera mu kibuga Rabat gye bagenda okuzannyira emipiira gy’ekibinja.
Uganda eri mu kibinja A, omuli Morocco abategesi, Bukina Faso ne Senegal.
No Comment