Pogba akyaddeko e Guinea gy'asibuka n'acankalanya ekibuga
Jun 22, 2022
ENKUMI n'enkumi za bannansi b'ensi ya Guinea Conakry beeyiye mu Kibuga ekikulu, Conakry okwerabira ku Paul Pogba gy'ali ku bugenyi obw'okulambula ku bakadde be, newankubadde azannyira nsi ya Bufalansa.

NewVision Reporter
@NewVision
Kibadde kijjobi nga Pogba akimibwa ku kisaawe ky'ennyonyi ekiri mu kibuga ekikulu Conakry, ng'akuumibwa magye, olwo ne balyoka bamuvuga okumwetoolooza ekibuga nga bw'awuubira ku bantu ababadde babembedde ku nguudo ne ku bizimbe waggulu.
Ku bugenyi buno era kigambibwa nti Pogba 29, wa kubaako okutambula okw'okusonga ssente kw'agenda okukulemberamu era asisinkane n'abakungu okuva mu Gavumenti n'ebitongole by'ebyemizannyo.

Pogba Ng'atuuka E Guinea
Pogba w'ajjidde gy'asibuka ng'asigazzaayo ennaku mbale bubazi asiibule kiraabu mw'abadde eya Manchester United ng'eggwaako ku nkomerero y'omwezi guno ng'asuubirwa okwegatta ku Juventus gye yava emyaka 6 egiyise.
Related Articles
No Comment