Crested Cranes etimpudde Zambia ggoolo 5 omutendesi n'awaga
Jun 29, 2022
Uganda eggulawo ne Senegal ku Ssande mu mupiira gwe yeetaaga okuwangula etandike bulungi empaka zino.

NewVision Reporter
@NewVision
Zambia 0-5 Uganda
OMUTENDESI wa ttiimu y'eggwanga ey'abakyala eya Crested Cranes, George William Lutalo alabudde abazannyi be obutacamuukirira oluvannyuma lw'okumegga Zambia ggoolo 5-0 mupiira ogw'okwegezaamu.
Omupiira guno gwabadde ku kisaawe kya Grande Stade de Marrakech e Morocco nga Uganda ettunka ne Zambia mu mupiira gw'omukwano nga beetegekera empaka za WAFCON ezitandika ku Lwomukaaga.
Lutalo yategeezezza nti omupiira guno gwabadde mukulu nnyo okugezesa abazannyi be era ensobi ze yalabye, agenda kuzimulungula ng'empaka tezinaggyibwako kawuuwo.
"Zambia ttiimu nnungi wabula twagisinze kuba abazannyi balwanira nnamba etandika y'ensonga lwaki baayolesezza omutindo omulungi," Lutalo bwe yategeezezza.
Ggoolo za Uganda zaateebeddwa Fazila Ikwaput, Fauzia Najjemba, Viola Nambi, Ritah Kivumbi ne ya kyeteeba Martha Thembo.
Lutalo yayongeddeko nti ebula ennaku mbale empaka zitandike wabula abazannyi bandaze nti buli omu mwetegefu okufiira mu kisaawe. Uganda eggulawo ne Senegal ku Ssande mu kibuga Rabat.
No Comment