Owa Crested Cranes alabudde abazannyi

Jun 29, 2022

Ggoolo za Uganda zaateebeddwa Fazila Ikwaput, Fauzia Najjemba, Viola Nambi, Ritah Kivumbi ne Martha Thembo (eyeeteebye).

NewVision Reporter
@NewVision

Zambia 0-5 Uganda

OMUTENDESI wa ttiimu y'eggwanga ey'abakyala, George William Lutalo alabudde abazannyi be obutakyamukirira oluvannyuma lw'okumegga Zambia ggoolo 5-0 mupiira ogw'okwegezaamu.

George Lutalo

George Lutalo

Omupiira guno gwabadde ku kisaawe kya Grande Stade de Marrakech e Morocco nga Uganda nga yetegekera empaka za WAFCON ezitandika ku Lwomukaaga.

Ikwaput ng'attunka n'omuzannyi mu za CECAFA

Ikwaput ng'attunka n'omuzannyi mu za CECAFA


Lutalo yategezezza nti omupiira guno gwabadde mukulu nnyo kuba yabadde alina okugezesa abazannyi be era ensobi agenda kuzitereeza ng'empaka tezinatandika.

 

"Zambia ttiimu nnungi wabula twagisinze kuba abazannyi balwanira nnamba etandika y'ensonga lwaki bayolesezza omutindo omulungi." Lutalo bwe yategezezza.

 

Ggoolo za Uganda zaateebeddwa Fazila Ikwaput, Fauzia Najjemba, Viola Nambi, Ritah Kivumbi ne Martha Thembo (eyeeteebye).

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});