Nabadda alinze ssaawa okulaga omutindo
Jun 23, 2022
Nabadde, y’omu ku baddiifiri 16 abalondeddwa CAF okulamula empaka zino ezigenda okubeera mu kibuga Rabat ne Casablanca.

NewVision Reporter
@NewVision
DDIIFIRI wa Uganda Shamirah Nabadda wiiki ewedde yalondeddwa ng’omu ku baddiifiri abakyala abagenda okulamula empaka za TotalEnergies Women Africa Cup of Nations e Morocco (WAFCON) ezitandika nga July 2.
Nabadde, y’omu ku baddiifiri 16 abalondeddwa CAF okulamula empaka zino ezigenda okubeera mu kibuga Rabat ne Casablanca.
Nabadda ng'alamula omupiira gwa liigi
Omugatte, CAF yalonze baddiifiri 40 nga kuliko 16 bawuubi babutambala ate 8 baakubeera ku VAR (Video Assistant Referee). Baabalonze mu nsi 24.
Nga June 25, baakubangulwa mu kibuga Rabat mu kawefube y’okulaba nga bongera okwetegekera empaka zino.
Nabadda yagambye nti guno mukisa gw’amaanyi okulaba ng’alamula empaka zino ez’omuzinzi era yeebazizza FUFA olw’ebwesigwa bwe yamutaddemu.
“Ndi musanyufu okulaba nga mu bantu bonna nze alondeddwa okulamula empaka za WAFCON ezigenda okubeera e Morocco.” Nabadda bwe yategezezza.
Ng’ogyeeko Nabadda, baddiifiri abalala kuliko; Maria Packuita Cynquela Rivet (Mauritius), Ganouati Dorsaf (Tunisia), Shahenda Saad Ali Elmaghrabi (Egypt), Akona Zenith Makalima (South Africa), Lidya Tafesse Abebe (Ethiopia), Mame Coumba Faye (Senegal), Shamira Nabadda (Uganda) ne Zomadre Sonia Kore (Cote d’Ivoire).
Eky’enjawulo omwaka guno, ttiimu ezigenda okuvuganya zeyongedde okuva ku 8 okudda ku 12 era zaawuddwamu ebibinja bisatu.
Ekibinja A mulimu, Morocco, Senegal, Burkina Faso, Uganda
Ekibinja B, Cameroon, Togo, Tunisia, Zambia
Ekibinja C, Nigeria, South Africa, Burundi, Botswana
No Comment