Netball Common Wealth Games;
She Cranes 49- 36 Kampala Select
NG’EBULA wiiki bbiri zokka emizannyo gya Commonwealth okuggyibwako akawuuwo mu kibuga Birmingham ekya Bungereza, She Cranes (ttiimu y’eggwanga ey’okubaka) efundikidde kampeyini y’okutalaaga ligyoni za Uganda ez’enjawulo.
Ttiimu eno yaakuyingira enkambi y’okusuzibwayo enkya ku Mmande (July 11, 2022) e Nakirebe mu disitulikiti y’e Mpigi oluvannyuma lw’omwezi mulamba n’ekitundu ng’abazannyi batendekerwa ku kisaawe kya Kamwokya Community Center nga bava waka.
Mu bbanga lino bazannye ensiike ez’omukwano okwetooloola ligyoni za Uganda ettaano okuli; ey’amasekkati, obuvanjuba, bugwanjuba, obukiikakkono ne Kampala gye baafundikiridde nga bakubye eya Kampala ennonderere (49-36) eggulo (Lwakutaano).
Shakira Nassaka owa Kampala Select (ku kkono) ng'azibira Jesca Achan.
Sarah Babirye Kityo, pulezidenti w’okubaka mu ggwanga yakakasizza nga kampeyini eno bwe bagenda okugikola buli mwaka mu kaweefube w’okubunyisa omuzannyo n’okunoonya ebitone ebinaazannyira She Cranes mu myaka egijja.
“Buli gye tutambulidde tuleseeyo abakiise baffe nga bakola ogw’okufeffetta ebitone, buli omu abadde yeegomba okusisinkana ku ‘She Cranes’ kati abazannyi tugenda kubayingiza enkambi wiiki ebbiri ezisigaddeyo nga ttiimu tennasitula,” Babirye bwe yategeezezza.
Omutendesi Fred Mugerwa yategeezezza bagenda okulangirira abazannyi 15 abali ku mutindo omusuffu n’ekiruubirirwa ky’okukola obulungi e Birmingham.
Mu kiseera kino abazannyi 20 be babadde batendekebwa ne ttiimu nga beetegekera emizannyo egitandika nga July 28.