Owa She Cranes ayongedde okusala ku bazannyi

Kapiteeni wa ttiimu y'okubaka eya She Cranes baakumusangayo e Bungereza gye bagenda okuttunkira mu mizannyo gya Commonwealth.

Rosette Namutebi omu ku baasuuliddwa.
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#She Cranes #Commonwealth #Kamwokya Community Center #Peace Proscovia

Netball Common Wealth Games 2022

OMUTENDESI wa She Cranes (ey’eggwanga ey’okubaka), Fred Mugerwa Tabale ayongedde okusalako abazannyi abalala bataano nga ttiimu yeesogga enkambi y’okusuzibwayo.

She Cranes ebadde emaze omwezi gumu n’ekitundu nga bava waka okutendekebwa ku kisaawe kya Kamwokya Community Center buli lunaku, wabula leero, abazannyi 17 kw’abo 30 abaasooka okuyitibwa baatandise okusuzibwa e Nakirebe mu disitulikiti y’e Mpigi.

Eggulo omutendesi yayongedde okusalako; Privas Kayeny, Rosette Namutebi, Asinah Kabendela, Christine Namulumba Kango ne Sarah Nakiyunga. Bano beegasse ku 8 okuli; Stella Nanfuka, Lilian Ajio, Annet Najjuka, Racheal Nanyonga, Maureen Winfred Nankya, Nassimu Mutesi, Florence Aduniya ne Shakira Nassaka abasooka okusalibwako.

Ku bazannyi 17 abasigadde ne ttiimu, 16 be bokka abaayingidde enkambi ate kapiteeni Peace Proscovia azannyira mu Surrey Storm eya Bungereza bajja kumusangayo nga bagenze e Birmingham.

Kabendera (mu bimyufu) bwe yali attunka mu mipiira gya She Cranes egy'omukwano.

Kabendera (mu bimyufu) bwe yali attunka mu mipiira gya She Cranes egy'omukwano.

Mu kiseera kino ttiimu egenda kuba etendekerwa ku kisaawe kya Nakirebe indoor Arena. Eza Commonwealth zitandika July 28 ziggwe nga August 10 mu kibuga Birmingham ekya Bungereza.

Abazannyi abasigadde mu nkambi;

Abazibizi (GK); Faridah Kadondi (Weyonje) ne Shaffie Nalwanja(KCCA). GD; Joan Nampungu (NIC) ne Sandra Nambirige (KCCA).

Abawuwuttanyi (Center); Margaret Baagala (NIC) ne Jesca Achan (Prisons).

WA; Desire Birungi Obua (NIC), Alicia Wasagali (Prisons) ne Norah Lunkuse (KCCA).

WD; Viola Asingo (Prisons), Shakira Nakanyike (Police).

Abateebi (GS); Stella Oyella (NIC), Peace Proscovia (Storm), Mary Nuba (Lightening), Hanisha Muhameed Nakate (KCCA). GA; Irene Eyaru ne Shadia Nassanga Ssegujja (KCCA)