Aba She Cranes balangidde ttiimu egenda e Bungereza

Ku bazannyi 16 abali mu nkambi e Maya mu disitulikiti y’e Mpigi, omutendesi esazeeko Alicia Wasagali, Viola Asingo, Faridah Kadondi, Shakira Nakanyike ne Desire Birungi Obua.

Abazannyi ba She Cranes
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#she cranes #netball #unf

Netball Common Wealth Games 2022

NG’EBULA wiiki 2, ‘She Cranes’ ttiimu y’eggwanga ey’okubaka okwesogga ensiike esooka mu mizannyo gya Common Wealth, omutendesi Fred Mugerwa Tabale alangiridde abazannyi 12 abagenda e Bimingham mu Bungereza.

Ku bazannyi 16 abali mu nkambi e Maya mu disitulikiti y’e Mpigi, omutendesi esazeeko Alicia Wasagali, Viola Asingo, Faridah Kadondi, Shakira Nakanyike ne Desire Birungi Obua.

Eza commonwealth zitandika wakati wa July 28 ne August 10, 2022 nga Uganda eri mu kibinja B omuli; New Zealand, Malawi, Trinidad and Tobago, Northern Ireland ne Bungereza abategesi.

Abazannyi 12 abagenda e Birmingham

Abazibizi (GK); Hanisha Muhameed Nakate ne Shaffie Nalwanja (aba KCCA). GD; Joan Nampungu (NIC) ne Sandra Nambirige (KCCA).

Center: Margaret Baagala (NIC) ne Jesca Achan (Prisons). WA/WD; Norah Lunkuse (KCCA).

Abateebi (GS); Peace Proscovia (Storm), Mary Nuba (Lightening), GA; Irene Eyaru ne Shadia Nassanga Ssegujja (aba KCCA) ne Stella Oyella (NIC).