SARAH Babirye Kityo pulezidenti w’okubaka mwennyamivu olwa Gavumenti okumuwa abantu 16 bokka okugenda ne She Cranes mu mizannyo gya Commonwealth.
Bano kuliko abazannyi 12 n’abakungu 4 bokka. Kyokka ku bakungu gavumenti tetaddeeko musawo, alabirira emijjoozi, owa dduyiro, munnamawulire n’abalala ng’ekibiina ky’okubaka bwe kyabadde kisuubira.
“Twabadde tusuubira omuwendo gw’abagenda ne ttiimu okusingako wano naye ebigambo byatuweddeko, Gavumenti etulaga nti tewali ssente era naffe tetulina kyakukola tujja kugenda n’abo abatuweereddwa,” Babirye bwe yategeezezza.
Yagasseeko nti mu kiseera kino abazannyi tebannafuna mijoozi, engatto, bbiibu n’ebirala, kyokka esigadde olunaku lumu lwokka ttiimu okusitula.
Norah Lunkuse (ku ddyo) ng'attunka n'ey'abasajja
Eggulo (Lwakuna) aba She Cranes baafunye okuddukirirwa okuva mu MTN bwe yabakubye enkata ya bukadde 50 zibayambeko mu nteekateeka zino.
Dorcus Muhwezi Batwala akulira ekitongole ekivunanyizibwa ku nsonga za bakasitoma mu MTN ng’abakwasa ceeke ku kisaawe ekya Allen and Stanley Arena e Nakirebe mu disitulikiti y’e Mpigi ttiimu gy’etendekerwa yasuubizza okwongera okubakwatirako singa boolesa omutindo omulungi.
“Ssente zino, obukadde 30 bujja kugenda ku akawunti z’abazannyi ate 20 bweyambisibwe ekibiina ky’okubaka era tujja kusiima n’abazannyi abanaasukkuluma ku bannaabwe n’obukadde busatu buli omu,” Muhwezi bwe yategeezezza.
She Cranes esuubirwa okusitula ku Ssande okwolekera ekibuga Birmingham ekya Bungereza mu mizannyo gya Commonwealth egitandika wakati wa July 28 ne August 10, 2022.