Netball Common Wealth Games 2022
Uganda 84 – 31 Barbados
SHE Cranes (ttiimu y’eggwanga ey’okubaka) nga yeetegekera emizannyo gya Commonwealth egitandika enkya (Lwakutaano), leero bazannye ogw’omukwano ne Barbados ne bagiwuttula (84-31).
Barbados eri mu kibinja A omuli; Australia, Jamaica, South Africa, Scotland ne Wales. Ate Uganda eri mu kibinja B omuli; New Zealand (bakyampiyoni b’ensi yonna mu kubaka), Malawi, Trinidad and Tobago, Northern Ireland ne Bungereza (abategesi).
Aba She Cranes mu kutendekebwa
Uganda nga tennamegga Barbados, yasoose kukubwa Jamaica (63-37) nga nagwo gwa mukwano. Ku Lwomukaaga, She Cranes lw’eggulawo egya Commonwealth ng’ezannya New Zealand mu kisaawe kya National Exhibition Center mu kibuga Birmingham ekya Bungereza.
Guno mulundi gwakubiri nga Uganda ekiika mu Commonwealth. Ogwasooka mu 2018 mu kibuga Gold Coast ekya Australia, yamalira mu kifo kyamukaaga.