She Cranes eri mu nsiike ne Bungereza

She Cranes, leero enoonya wiini yaakubiri mu mizannyo gino ate esooka ku Bungereza gye tawangulangako mu byafaayo.

Mary Nuba owa She Cranes
By Gerald Kikulwe ne Olivia Nakate
Journalists @New Vision
#she cranes #Commonwealth #UNF

Netball Common Wealth Games 2022

Uganda - Bungereza ssaawa 2:00

SHE Cranes (ttiimu y’eggwanga ey’okubaka) leero Lwakubiri ekomyewo mu nsiike ey’akaasammeeme ng’ettunka ne Bungereza abategesi b’emizannyo gya Commonwealth egiyindira mu kibuga Birmingham.

Uganda yaggulawo na kukubwa kyampiyoni w’ensi yonna New Zealand (53-40) wabula y’ebbulula n’ekuba Trinindad and Tobago (62-28), nga leero enoonya wiini yaakubiri mu mizannyo gino ate esooka ku Bungereza gye tawangulangako mu byafaayo.

Ensiike za Bungereza essatu zonna eziwangudde mu gya Commonwealth gy’omwaka guno. Yakubye Trinidad and Tobago (74-22), Malawi (66-41) ne Northan Ireland (71-27).

 

Uganda ne Bungereza, baasemba okusisinkana mu 2019 mu mpaka z’ensi yonna eza Netball World Cup nga Bungereza yaguwangula ku ggoolo 64-32.

Joan Nampungu amyuka kaputeeni wa She Cranes agamba Bungereza bagizanye enfunda eziwera n’olwekyo bamanyi bulungi enzannya yaabwe.

 

“Emipiira ebbiri gyetwakazanyako gituwadde eky’okuyiga era tugenda kusisinkana Bungereza nga tuterezezza ensobi zaffe. Okusinziira ku kuvuganya kwe twatekawo ku New Zealand mmanyi ne Bungereza etidde” Nampungu bwe yategeezezza.

 

Mu mizannyo gya Commonwealth egya 2018, Uganda gye yasooka okwetabamu, Bungereza yabakuba n’enjawulo ya ggoolo 6 zokka (55-49) ate n’ensisinkano eyasembyeyo mu World Netball Cup ya 2019 mu kibuga Liverpool, Bungereza yawangula (64-32).