Willa asibudde Vipers

Ono yatadde obubaka ku mukutu gwa twitter nga yeebaza pulezidenti wa ttiimu eno, Dr. Lawrence Mulindwa, abatendesi saako n’abazannyi olw’ebirungi bye bamukoledde.

Willa
By Ismail Mulangwa
Journalists @New Vision
#Vipers #Paul Willa #SUPL

OMUZIBIZI wa Vipers, Paul Willa alangiridde nga bw’ayabulidde kiraabu eno oluvannyuma lw’emyaka 3 ng’agizannyira. 

Willa yeegatta ku Vipers mu 2019 era abadde mpagiruwagga mu ttiimu eno kuba kumpi buli mupiira abadde aguzannya. 

Mu bbanga ly’amazeeyo, ayambye Vipers okuwangula ebikopo bya liigi 2 era abadde kapiteeni owookubiri ng’addirira Halid Lwalilwa. 

Sizoni ewedde teyamutambulira bulungi oluvannyuma lw’okufuna obuvune mu vvivi nga liigi enaatera okukomekkereza era yakomawo ku mupiira gwa BUL FC mu mpaka za Uganda Cup. 

Ono yatadde obubaka ku mukutu gwa twitter nga yeebaza pulezidenti wa ttiimu eno, Dr. Lawrence Mulindwa, abatendesi saako n’abazannyi olw’ebirungi bye bamukoledde. 

Yeegasse ku Allan Kayiwa eyayabulira ttiimu eno ku nkomekerero y’omwezi oguwedde era Ashraf Mandela eyavudde mu URA yagenda okudda mu bigere bye.