Makindye Weyonje eyingidde enkambi

Aug 25, 2022

Ekibinja ky’abazannyi 18 kye kiyingidde enkambi ku St Peters’ e Nsambye nga baakumalayo wiiki emu.

NewVision Reporter
@NewVision

Makindye Weyonje ezannyira mu liigi y’okubaka ey’okuntikko, eyingidde enkambi okwongera okwetegekera sizoni empya ey’omuzannyo guno.

Ekibinja ky’abazannyi 18 kye kiyingidde enkambi ku St Peters’ e Nsambye nga baakumalayo wiiki emu.

Omwogezi wa ttiimu, Eddie Odhiambo ategeezezza nti ekibatutte mu nkambi nga obudde bukyali kwe kwagala abazannyi batandike okufuna enkolagana ng’obudde bukyali.

 

“Twagala kukuumira bazannyi baffe wamu. Sizoni ewedde twakigezesa era nekitukolera ng’omulundi guno nsuubira tujja kukola bulungi okusinga sizoni ewedde,” Odhiambo bwe yetegeezezza.

 

Sizoni ewedde Makindye Weyonje yamalirira mu kifo kyakuna emabega wa Prisons, KCCA ne NIC.

Sizoni y’omuzannyo gw’okubaka etandika nga ennaku z’omwezi 02 omwezi ogujja ogwa September nga kiraabu 12 zezimaze okukakasa okugyetabamu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});