Abazannyi ba NIC beetise empaka z'okubaka ez'obuvanjuba

May 22, 2023

Gloria Aya yalondeddwa nga omuzannyi asinze okwolesa omutindo omulungi mu mpaka zino ate omuteebi Racheal Nanyonga ne yeetikka eky’omuteebi asinze.

NewVision Reporter
@NewVision

Abazannyi ba NIC babiri balondedwa mu basinze okwolesa omutindo mu mpaka za kiraabu empanguzi eza East Africa Netball Club Championships ezibadde ziyindira mu kibuga Nairobi ekya Kenya.

Gloria Aya yalondeddwa nga omuzannyi asinze okwolesa omutindo omulungi mu mpaka zino ate omuteebi Racheal Nanyonga ne yeetikka eky’omuteebi asinze.

Oluvannyuma lw’okukwasibwa engule eno, Nanyonga yategeezezza nti okukolera awamu nga ttiimu kibayambye okukomawo n’obuwanguzi.

Gloria Aya eyalondeddwa nga omuzannyi asinze.

Gloria Aya eyalondeddwa nga omuzannyi asinze.

“Ndi musanyufu nnyo okuba nga nalondeddwa nga omuteebi asinze mu mpaka zino. Kino kitegeeza kinene nnyo gyendi naye singa si bazannyi bannange bwe twakoledde awamu tekyandibadde kyangu kuwangula ngule eno n'ekikopo,” Nanyonga bwe yategeezezza.

NIC yawangudde ekikopo kino omulundi ogwokubiri ogw’omuddiring’anwa oluvannyuma lw’okukuba Prisons ku fayinolo ku ggoolo 49-37 era NIC ye kiraabu yokka eyamazeeko empaka zino nga tekubiddwaamu.

Mu mpaka zino ezaazannyiddwa wakati wa May 13-20, yakiikiriddwa kiraabu ttaano; ez’abakazi ssatu ate bbiri z’abasajja. NIC yeegattiddwaako Prisons ne Makindye Weyonje ate WOB ne Kampala University ze zaakiikiridde abasajja ba Uganda. NIC yabadde ewangula ez’abakazi nga ne WOB esitukira mu z’abasajja.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});