Rangnick akubye Bayern ekimmooni
May 04, 2024
OMUTENDESI wa Austria, Ralf Rangnick amenye aba Bayern Munich emitima bw’alangiridde nga bw’asazeewo okusigala ku mulimu gw’aliko okusinga okubeegattako.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUTENDESI wa Austria, Ralf Rangnick amenye aba Bayern Munich emitima bw’alangiridde nga bw’asazeewo okusigala ku mulimu gw’aliko okusinga okubeegattako.
Agambye nti asazeewo okussa essira ku Austria nga boolekera empaka za Euro 2024, so si kutendeka Bayern Munich ebadde emwesunze okusikira Thomas Tuchel gwe baagoba edda.
Rangnick 65, eyaliko omutendesi wa Manchester United ow’ekiseera y’abadde asuubirwa okudda mu bigere bya Tuchel, agenda okusegulira Bayern ku nkomerero ya sizoni eno oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga y’egiri mu mitambi, wabula nga mu sizoni eno yalemereddwa pkuwanguza Bayern ekikopo kya liigi y’awaka eky’omulundi ogw’ekkumineebiri eky’omuddiring’anywa.
Ttiimu ya Austria ezze ekola bulungi okuva Rangnick lwe yagyegattako mu April wa 2022, ng’ewangudde emipiira 11 ku egyo 14 gy’ezannye, n’ekubwamu gumu gwokka.
Kyokka Austria eyolekedde empaka za Euro 2024 mwe yateekeddwa mu kibinja ekitali kyangu, kubanga erimu ne France, Poland ne Netherlands.
No Comment