Ikwaput azzeeyo e Cyprus ku kipulo oluvannyuma lw'emyaka esatu
Aug 30, 2022
OMUTEEBI wa Crested Cranes (ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi) Fazila Ikwaput azzeeyo mu Cyprus ku pulo mu ttiimu ya AC Amonia Nicosia ku ndagaano ya myaka ebiri.

NewVision Reporter
@NewVision
Mu 2018 Ikwaput yali muzannyi wa BIIK Kazygurt WFC eya Kazakhstan n’abawangulira n’ekikopo kya ‘Kazakhstan Cup’, wabula teyamalako sizoni n’akomawo wano mu ggwanga bwe yeegatta ku Lady Doves FC mu liigi y’omupiira gw’abakazi mu ggwanga gy’abaddemu okutuusa w’azzeeyo.
Ikwaput 24, ayambala omujoozi (9) ku ttiimu y’eggwanga, abadde n’omutindo omulungi bukya akomawo wano mu ggwanga (2019).
Ikwaput ng'assa omukono ku ndagaano
Sizoni ya 2021 ye yasinga abateebi mu liigi y’eggwanga (FUFA Women Super League) ne ggoolo 8 ezaayamba Lady Doves okusitukira mu kikopo ekyasookera ddala n’okwesogga ez’okusunsulamu mu kikopo kya Champions League w’abakazi (CECAFA zonal Champions League qualifiers).
Sizoni ya 2022 eyaakaggwa yataasizza Lady Doves obutasalwako era n’awangula n’ekirabo ky’omuteebi eyasinze banne ne ggoolo 15 ze yasibaganyizza ne Hasifah Nassuuna owa UCU Lady Cardinals.
Abazannyi Ba Crested Cranes Nga Boozaayoza Ikwaput Afukamidde Wansi1 (1)
Ikwaput yasitukidde mu kirabo ky’omuzannyi w’empaka za 2022 CECAFA Senior Women Championship ezaayindidde e Njeru bwe yayambye Uganda okuwangula ekikopo kino omulundi ogusooka mu myaka musanvu bukya batandika kukyetabamu mu 2016.
Yateeba mu mipiira gyonna etaano Uganda gye yazannya n’aweza ggoolo 6, era n’afuuka omuzannyi akyasinze okuteebera Uganda ggoolo ennyingi (12) mu kikopo kino bwe yamenyeewo Hasifa Nassuuna abadde akulembedde ne ggoolo 9.
No Comment