Abantu 10 abeetisse ebyemizannyo mu 2022

Dec 31, 2022

Abantu 10 abeetisse ebyemizannyo mu 2022

NewVision Reporter
@NewVision

MUPIIRA:

Guno gubadde mwaka gwa Cesar Manzoki (Vipers). Yayamba Vipers okuwangula liigi ate nga ye muzannyi eyasinga okuteeba ggoolo (18).

Travis Mutyaba ne Titus Ssematimba nabo baase sso nga mu Masaza, Bruno Bunyaga (Buddu) ekintu akiwanise nnyo era abadde mulungi ne mu gya Yunivasite.

Karim Ndugwa naye akoze bulungi. Yakuba ggoolo za liigi 4, n’akola asisiti 7 mu liigi n’agattako ne ggoolo 9 mu Uganda Cup ezaayamba BUL FC okuwangula ekikopo ekyo.

Mu bakazi; Fazila Ikwaput abeetisse. Yakuba ggoolo 15 mu liigi n’agattako eza CECAFA 6.

EBIKONDE:

Joshua Tukamuhebwa y’asinze okukolera omuzannyo guno wadde nga si y’asinga okucamula abantu. Ku nnwaana 6 mu Champions League, 5 za tonziriranga.
Isaac Zebra y’asinze okucamula abawagizi sso nga ne Ukasha Matovu takoze bubi.

MISINDE:

Jacob Kiplimo asinzeko ku munne Joshua Cheptegei omwaka guno. Awangudde ekikomo mu World Championship mu mmita 10,000, kwossa n’emidaali 2 mu Commonwealth. Kuno era agasseko ogwa Great North Run.

NETBALL: Margaret Bagala okuva mu NIC. Stella Oyera naye akoze.

MMOTOKA:
Ponsiano Lwakataka yali abulako katono abawangule ng’ali na mu kkomera. Junior Mukula, mutabani wa Mike Mukula naye afubye kyokka ono asinze kweriisa nkuuli mu bato.

PIKIPIKI:

Gift Ssebuguzi, akoze nnyo. Starv Oland, ye muvuzi asinga okuwagirwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});