Endiga ewangudde omusango ne yeesogga fayinolo y'Ebika
Aug 31, 2022
Bazzukulu ba Lwomwa (Abendiga) balinze lunaku Ssaabasajja Kabaka lw'anaasiima fayinolo y'Ebika ezannyibwe bambalagane n'aba Ndugwa (Aboolugave).

NewVision Reporter
@NewVision
BAZZUKULU ba Lwomwa (abeddira Endiga) balinze lunaku Ssaabasajja Kabaka lw’anaasiima okuggalawo emipiira gy’Ebika by’Abaganda battunke n’aba Ndugwa (abeddira Olugave).
Endiga yaggyeemu Effumbe ku ‘semi’ ng’egikubye omugatte gwa ggoolo 5-3, wabula bazzukulu ba Walusimbi (Abeffumbe) ne bawaaba mu kakiiko akategeka empaka zino nga bagamba Endiga yasambisa Geroge Ssenkaaba gwe bagamba nti yeddira Ffumbe ne Ponsiano Ssegoonja eyali yawerebwa obutaddamu kwetaba mu mipiira gino olw’okuba nga yali yazannyira Ebika eby’enjawulo gye buvuddeko.
Katamba, omuwandiisi w'akakiiko k'emipiira gy'Ebika.
Saabawandiisi w’akakiiko kano Gerald Katamba agamba, Endiga y’egenda kuzannya fayinolo kuba Abeffumbe tebaaleeta bujulizi bukakasa nsonga ze baawaaba nti Ssegoonja yali yawerebwa obutaddamu kwetaba mu mipiira gino.
Ku nsonga ya Ssenkaaba, obutambi bwe bagamba nti baatukirira nnyina, bwabadde tebuyinza kwesigamwako kyali kizibu okukaksa oba ye yali ayogera mu katambi ako kuba ayogera tetumulaba.
No Comment