Abendiga baweze okweddiza Engabo y'emipiira gy'Ebika

May 22, 2023

Emipiira gino gyatandika mu 1950 mu kisaawe ky’e Nakivubo oluvannyuma lwa Kiguli okuleeta abaamusemba. Wabula Ekika ky’Endiga kibadde tekiwangulanga ku Ngabo wadde nga be baaleeta ekirowoozo kino.

NewVision Reporter
@NewVision

BAKYAMPIYONI b’emipiira gy’Ebika by’Abaganda abeddira Endiga baatutte Engabo gye baawangula mu maka ga Aloni Mikisa Kiguli eyawandiikira Ssekabaka Muteesa II mu 1945 okugitandikawo emipiira gino.

Kiguli, eyali akola mu Kkooti Enkulu nga omuvvuunuzi mu misango egy’enjawulo, yategeeza Ssekabaka Muteesa ng’empaka zino, bwe zaali zigenda okuyamba abavubuka okwagala, okuwagira wamu n’okulaakulanya Ebika byabwe. Muno mwe yayita n’okumusaba okugula Engabo ttiimu gye zinaawakaniranga.

Abazannyi b'Endiga nga basitudde Engabo.

Abazannyi b'Endiga nga basitudde Engabo.

Emipiira gino gyatandika mu 1950 mu kisaawe ky’e Nakivubo oluvannyuma lwa Kiguli okuleeta abaamusemba. Wabula Ekika ky’Endiga kibadde tekiwangulanga ku Ngabo wadde nga be baaleeta ekirowoozo kino.

Kapiteeni wa ttiimu y’ekika kino Geoffrey Sserunkuuma agambye nti, “Tugenda kufuba okulaba nga tweddiza engabo mu ngeri y’okuwa Kiguli ekitiibwa.”

Omukolo guno gwabadde mu maka g’Omugenzi Kiguli e Busega, nga ttiimu yakulembeddwaamu jjaajjabwe Lwomwa Daniel Bbosa.

Mikisa Kiguli eyaleeta ekirowoozo ky'emipiira gy'Ebika.

Mikisa Kiguli eyaleeta ekirowoozo ky'emipiira gy'Ebika.

Mu ngeri y'emu, obululu bw'emipiira gy'Ebika by'Abaganda bwakwatiddwa oluvannyuma lwa Ssaabasajja Kabaka okuziggulawo mu butongole ng’Engabi Ensamba ewangula Enkima ggoolo 3-1. Emipiira gino gyakutandika ku Lwokusatu nga Enjovu ezannya Nkula, Ekkobe littunke ne Nakinsinge, Obutiko n’Ensuma ssaako Enkusu n’Amazzi g’ekisasi.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});