Ronaldo abadde anoonyaayo kiraabu mw'ayinza okuzannyira empaka za Champions League ave mu ManU eri mu Europa, nga kino yatandika okukiraga mu June naye tekijja kusoboka.
Omuportugal ono, 37, tatandise mipiira gya ManU ebiri egisembyeyo mwe bawangulidde Liverpool ne Southampton ng'omutendesi atandisa Marcus Rashford okukulembera olugoba oluteebi olwa ManU.
Wabaddewo essuubi nti yandiva mu ManU yeegatte ku kiraabu nga Chelsea, Atletico Madrid ne Napoli naye kati byonna tebikyasobose.
Ten Hag agambye nti newankubadde alaba ttiimu ye ekoze bulungi mu mipiira ebiri egiyise, eno ekyali ntandikwa era n'alagira nti ayagala abazannyi be bongeremu amaanyi mu mibiira egiddako nga batandika n'egwa Leicester City.
ManU eri ku ndeboolebo ya kumaliria omuwuwuttanyi Antony okuva mu Ajax ey'e Budaaki ku bukadde bwa Paawundi 85 mu emitwalo 50 ne ddiiru ya goolo kiipa, Martin Dubravka okuva mu Newcastle ku bbanja nga bano bongerezebwa ku bazannyi abapya omuli:Tyrell Malacia, Christian Eriksen, Lisandro Martinez ne Casemiro era Ten Hag agambye nti nga bano bawedde ttiimu ye ejja kuba ejjudde.