Abazannyi ba BUL basatu basubiddwa ogwa CAF n'eya Misiri

Sep 01, 2022

“Wadde ng’abamu bagamba nti nti Futures nnafu, nze siginyooma kuba teri ttiimu eyitamu kutuuka awo nga nnafu era naffe tuli b’amaanyi.”

NewVision Reporter
@NewVision

KCCA 0-1 BUL

Mu kaweefube w’okwetegekera empaka za CAF Confederation Cup, BUL FC yawangudde KCCA ggoolo 1-0 ku kisaawe kya Phillip Omondi e Lugogo nga yateebeddwa Reagan Kalyowa mu ddakiika y’e 75.

BUL eyawangudde ekikopo kya Uganda Cup yeetegekera Futures eya Misiri mu luzannya olusooka olwa CAF Confederations Cup ku kisaawe kya St. Mary’s Kitende nga September 10.

Alex Isabirye atendeka BUL yategeezezza nti bamaze ebbanga ddene nga tebasamba kwe baavudde okwagala okugezesa ttiimu yaabwe okulaba we bayimiridde.

“Omupiira guno gutuyambye okumanya ttiimu bw’eyimiridde oba ne bye tubadde tutendeka birimu omulamwa. Nsuubirayo omupiira gw’omukwano omulala gumu ku Ssande nga ttiimu gye tunaazannya naya tugisuubira kuva bweru wa ggwanga,” Isabirye bwe yategeezezza.

Isabirye (ku kkono) ng'aliko by'agamba Morley Byekwaso atendeka KCCA.

Isabirye (ku kkono) ng'aliko by'agamba Morley Byekwaso atendeka KCCA.

Wabula Isabirye yalaze okutya olw’abazannyi be basatu okuli ne kapiteeni George Kasongo abataafunye layisinsi za CAF ekigenda okubasubya ogwa Futures.

Yagaanyi okwogera ensonga eyabalemesezza wabula ensonda zaategeezezza nti abazannyi bano tebaabadde na paasipoota mpya.

BUL yaakutandika okutendekerwa ku kisaawe kya Njeru Technical Center e Njeru okumanyiira ekiwempe nga tebannagenda Kitende.

Isabirye yagumizza Bannayuganda nti ttiimu ya Futures wadde ng’erimu abasambi abagwira bataano ate ng’ebadde esamba liigi baakukozesa omukisa gw’okubeera awaka n’okwetegeka obulungi okugiggyamu.

“Wadde ng’abamu bagamba nti nti Futures nnafu, nze siginyooma kuba teri ttiimu eyitamu kutuuka awo nga nnafu era naffe tuli b’amaanyi,” bwe yategeezezza.

Abaagutandise kuliko; Thomas Ikara, Douglas Muganga, Deo Tahomera, Richard Ayiko, Pascal Ngobi, Ibrahim Mugurusi, Hilary Onek, Emmanuel Obua, Ibrahim Kazindula, Frank Kalanda ne Simon Peter.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});