Kampala University yeesozze ‘quarter’ za Pepsi University League
Sep 03, 2022
KAMPALA University esambira nnyuma nga jjanzi bwe yeesozze ‘quarter’ za Pepsi University League ku ssaawa esembayo oluvannyuma lwa Kumi gye babadde babbiisanya nayo okusalwako obubonero busatu ne ggoolo 3.

NewVision Reporter
@NewVision
Oluvannyuma lwa ttiimu 7 okukakasibwa ku ‘quarter’ gye buvuddeko, abategesi ba liigi ya yunivasite sizoni eno babadde banoonya ttiimu endala emu okuweza 8 eza ‘quarter’.
K.U mu kibinja E ebadde esibaganye ne Kumi mu kibinja A ku bubonero 10, naye Kumi ebadde esinza K.U ggoolo 5. Wabula eggulo Lwakusatu akakiiko akakwasisa empisa kaasazeeko Kumi obubonero 3 ne ggoolo 3 n'okutanzibwa emitwalo 30 lwa kuzannyisa bacuba mu mupiira bwe baali basisinkanye Victoria University.
Mu mupiira Kumi gwe yawangula Victoria University (2-1) nga April 22, 2022 ku kisaawe kya IUIU e Kabojja, akakiiko kaasingisizza Kumi omusango gw’okuzannyisa; James Peter Obicho eyayambala omujjoozi (13) ne Emmanuel Amule omujjoozi (5) abataalina layisensi.
Okusinziira ku kiwandiiko ekyateereddwaako omukono Bernard Bainamani Bampaire Ssentebe w’akakiiko, erinnya lya Obicho ne Amule agaali ku lukalala lw’abasambi, bannyini go ssi be baali mu mupiira, ebifo baabigabira abacuba.
Ttiimu Ya Kampala University
Mu mbeera eno Kumi yasaliddwaako obubonero 3 ne ggoolo 3, Steven Onyait akulira eby’emizannyo mu yunivasite eno yatanziddwa emitwalo 30. Kino kyayisizzaawo Kampala University okwesogga ‘quarter’.
Obululu bwa ‘quarter’ bugenda kukwatibwa wiiki ejja September 5, 2022 olwo ‘quarter’ zizannyibwe wakati wa September 12 ne October 7, 2022 ate semi zizannyibwe wakati wa October 10-21, 2022.
“University zonna tuzikubiriza okugoberera amateeka ga liigi nga tuyingira enzannya zaakakung’unta, era ttiimu 8 ezaayitamu okwesogga ‘quarter’ zirina okutandika okwetegeka,” Vincent Kisenyi ssentebe w’akakiiko akategesi bwe yategeezezza.
Ttiimu eziri ku ‘quarter’
Uganda Christian Univerty, Kyambogo, Uganda Martyrs University, Kampala University, Makerere University Business School, Nkumba, St. Lawrence University ne Bugema University.
No Comment