Tugenze kumegga Future tukomewo n'obuwanguzi - Saidi Keni
Sep 14, 2022
E Kitende twakola ennumba ez’obulabe wabula omukwasi wa ggoolo ya Future Mahmoud Ahmed yali musaale nnyo kuba yataasa emirundi ebiri nga ffenna tubaze nti ggoolo wabula twagenze e Misiri kuzannya mupiira gwa kulumba okusobola okufuna obuwanguzi

NewVision Reporter
@NewVision
Lwamukaaga mu CAF Confederations Cup;
Future FC- BUL FC
OMUKWASI wa ggoolo ya BUL FC, Saidi Keni asuubizza Bannayuganda nti bagenda okukomawo n’obuwanguzi mu mpaka za CAF Confederations Cup ez’oluzannya olwokubiri e Misiri ku Lwomukaaga.
Keni, eyali omuzannyi w’olunaku nga bakola amaliri ga 0-0 ne Future FC eya Misiri e Kitende, agamba nti ttiimu eyalondeddwa kabiriiti era buli muzannyi mwetegefu okufiirawo beesogge oluzannya oluddako.
“E Kitende twakola ennumba ez’obulabe wabula omukwasi wa ggoolo ya Future Mahmoud Ahmed yali musaale nnyo kuba yataasa emirundi ebiri nga ffenna tubaze nti ggoolo wabula twagenze e Misiri kuzannya mupiira gwa kulumba okusobola okufuna obuwanguzi,” Keni bwe yabambye.
Yagasseeko nti, “Tulina abazannyi abalina obumanyirivu mu mpaka zino nga Karim Ndugwa ne Frank Kalanda abazannye empaka ez’omuzinzi era bano baakutuyamba nnyo.” BUL yeetaaga kuwangula mupiira guno oba okukola amaliri agalimu ggoolo, bw’eba yaakuyitawo.
No Comment