She Cranes bubeefuka ne Wales mu gw'omukwano e Bungereza: Mary Nuba ne Peace Proscovia beegasse ku ttiimu

Oct 01, 2022

ENKAMBI ya She Cranes (ttiimu y’eggwanga ey’okubaka) yeeyongedde ebbugumu, kapiteeni Peace Proscovia ne Mary Nuba Cholhok bwe bagyegasseeko mu kibuga Cardiff ekya Wales ttiimu gye yalaze okwetaba mu nsiike z’omukwano.

NewVision Reporter
@NewVision

International Netball Series

Uganda 36-31 Northern Ireland

Uganda 44-36 Northern Ireland

Leero (Lwamukaaga)

Uganda – Wales

Enkya (Ssande)

Uganda – Wales

Abazannyi 7 bokka okuli; Shadia Nassanga Sseggujja (GS), Irene Eyaru (GA), Viola Asingo (WA), Margaret Baagala (C), Sandrah Nambirige (WD), Joan Nampungu (GD) ne Hanisha Muhameed Nakate (GK) be baasitula mu kiro ekyakeesa ku Lwokubiri (September 26, 2022) okugenda e Bungereza.

Wakati mu bunkenke ng’omutendesi Fred Mugerwa Tabale talina bazannyi basigala ku katebe, yakozesezza bano 7 okuwangula Northern Ireland (36-31 ne 44-36) mu nsiike z’omukwano ebbiri ezaasoose.

Leero Lwamukaaga n’enkya (Ssande) mu kisaawe kya Cardiff City House of Sport, Clos Parc Morgannwg, battunka ne Wales gye baakoma okuzannya mu 2018 mu gya Commonwealth egyali mu kibuga Gold Cost ekya Australia nga Uganda yawangula (76-40).

Mu kiseera kino Uganda eri mu kifo kya 6 mu nsi yonna ate Wales eri mu kya 8 wabula Uganda terina kweyibaala kubanga Wales yali ebakubyeko 49-47 mu gy’ekibinja D mu World Netball Cup (2015) mu kibuga Sydney ekya Australia. Omwaka ogwo Uganda yamalira mu kifo kya 8 era Wales y’ebakubye 64-41 mu nsiike eyali ey’okulwanira ekifo ekyo 7.

Leero basisinkanye Wales ng’abamu ku bazannyi tebaliiwo abaataddewo omutindo omulungi, She Cranes bwe yabadde ekuba South Africa (54-48) ne bamalira mu kifo ekyakutaano mu mizannyo gya Commonwealth egibadde mu kibuga Birmingham ekya Bungereza omwezi oguwedde (August 5, 2022).

Bano okuli; Stella Oyella, Norah Lunkuse, Jesca Achan ne Shaffie Nalwanja tebaatambudde na ttiimu, kw’ossa Rose Namutebi, Faridah Kadondi ne Shakirah Nakanyike abakyalina obuzibu ku Viza zaabwe wabula nga basuubirwa okwegatta ku ttiimu wiiki ejja mu Bungereza.

Ensiike zino ez’omukwano Uganda egenda kuzeeyambisa okwetegekera World Netball Cup gy’erina okwetabamu wakati wa July 28 ne August 6, 2023 mu kibuga Cape Town ekya South Africa.

Ensiike z’omukwano endala She Cranes z’erina okuzannya

Uganda – Bungereza (October 5-9, 2022)

Uganda – Scotland (October 10, 2022)

Uganda – Loughborough Lightning (October 12, 2022)

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});