Simba eya Tanzania epasudde Charles Ayiekoh

"Tekwabadde kusalawo kwangu naye nga omusajja nabadde nnina okutakula ennyo omutwe era nakkiriza oluvannyuma lw’okwekkeneenya ebiruubirirwa bya kiraabu nga Simba si mu bawala bokka naye n’abasajja era nzikiriza ku lw’obuyinza bwa Katonda katugezese omukisa omukisa oguze"

Ayiekoh (ku kkono) n'abazannyi ba MUBS eya Pepsi University League.
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#MUBS #Charles Ayiekoh #Simba Queens #CAF Women Champions League #She Corporate

Omutendesi Charles Ayiekoh ‘Mbuzi’ agudde mu bintu kiraabu ya Simba SC era nga be bannannyini Simba Queens FC ey’abakazi bwe bamuwadde omulimu ng’omu ku batendesi abagenda okuddukanya emirimu gya ttiimu zombi.

Ku Mmande Ayiekoh yayanjuddwa mu butongole n’akwasibwa obuvunaanyizibwa bw’okubeera mu mitambo gya Simba Queens ey’abakazi nga yeetegekera empaka z’ekikopo kya CAF Women Champions League.

Simba okumupasula kyaddiridde omutindo gwe yayolesezza bwe yabadde mu mitambo gya She Corporate FC bakyampiyoni ba liigi y’eggwanga ey’abakazi baawandukidde ku fayinolo mu z’okusunsulamu ttiimu z’obuvanjuba bwa Afrika ezinaakiika mu Champions League y’abakazi.

Simba Queens ye yakubye She Corporate ku fayinolo (1-0) wabula wadde tebaawangudde kikopo, abakungu ba Simba baamatira notisi za Ayiekoh era waakukola n’Omuserbia Zoran Manojlovic atendeka Simba SC ey’abasajja.

“Tekwabadde kusalawo kwangu naye nga omusajja nabadde nnina okutakula ennyo omutwe era nakkiriza oluvannyuma lw’okwekkeneenya ebiruubirirwa bya kiraabu nga Simba si mu bawala bokka naye n’abasajja era nzikiriza ku lw’obuyinza bwa Katonda katugezese omukisa omukisa oguze,” Ayiekoh bwe yategeezezza.

Empaka z’ekikopo kya Champions League y’abakazi zitandika wakati wa October 30 ne November 13, 2022 mu kibuga Rabat ekya Morocco, Simba Queens eri mu kibinja A omuli; Green Buffaloes FC (Zambia), Determine Girls FC (Liberia) n’abategesi aba AS FAR FC (Morocco).

Ayiekoh abadde atendeka MUBS mu Pepsi University League, emabega yatendekako; Rwenshama, Kirinnya Jinja SS, Soana, Nyamityobora, Maroons n’endala.