Emery 50, wa kutandika omulimu gw'obutendesi bwa Villa nga November 1 ebiwandiiko bye lwe binaggwa okukolebwako, ekitegeeza nti omupiira gw'anaasooka okuba ku katebe gw'egw'awaka bwe banaaba bakyazizza Manchester United ku Ssande nga November 6.
Gerrard yagobeddwa oluvannyuma lw'okutendekera Villa emyezi 11 nga yabeegattako ng'ava mu Rangers ey'e Scottish league gye yali awangulidde n'ekikopo kya liigi ekyasooka mu myaka 10.
Kyokka bwe yatuuka mu Aston Volla ebintu tebyatambula bulungi nga yawangula emipiira 13 gyokka ku egyo 40 gye yatendese kiraabu eno era yagobeddwa mu kiro Villa lwe yakubiddwa Fulham ku ggoolo 3-0 wiiki ewedde.
Aaron Danks y'abadde yakwasibwa ogw'omutendesi ow'ekiseera era nga ku wiikendi yakulembeddemu Aston Villa n'ewuttula Brentford ku ggoolo 4-0 nga bwe buwanguzi obwasoose mu mipiira etaano gy'esembyeyo okuzannya.
Embeera eriwo eraga nti Danks wa kusigalawo ne mu muoiira oguddako ku Lwomukaaga luno nga October 29, bwe banaaba bakyalidde Newcastle, olwo Emery etuuke nga wayise ennaku 3.