Owa SLAU agumizza banne

SLAU ne MUBS baakoma okusisinkana mu 2017 mu gy’ekibinja MUBS n’ewangula awaka ne ku bugenyi. Leero SLAU eyagala wiini esooka ku MUBS.

Abamu ku bazannyi ba SLAU
By Gerald Kikulwe
Journalists @New Vision
#SLAU #MUBS #University League

Mu semi za Pepsi University Football League

SLAU – MUBS, Kavule

KAPITEENI wa St. Lawrence University (SLAU) Umar Kayemba agumizza bazannyi banne nti basobola okuwangula omupiira gwa leero nga bakyazizza MUBS ku kisaawe e Kavule.

Kayemba, yawezezza kkaadi za kyenvu 5 era tagenda kuzannya nsiike ya leero SLAU ng’ettunka ne MUBS mu nsiike ya semi za Pepsi University League esooka, ttiimu zombi zaagala kutandika na buwanguzi okutangaza emikisa gya fayinolo.

Ng’oggyeeko Kayemba obutabeera mu mupiira gwa leero, SLAU yaakusubwa abazannyi abalala empagiruwaga okuli; Denis Kalanzi eyeegasse ku Kaaro Karungi eya Big League, Haruna Lukwago (yeegasse ku KCCA FC), Sulaine Oscar Ssessaazi(yeegasse ku NEC eya Big League), Simon Tabu Oryem ne Rogers Kiwanuka (beegasse ku SC Villa) ne Marvin Nyanzi (Wakiso Giants).

Ttiimu ya MUBS

Ttiimu ya MUBS

“Temwetiiririra wadde ffe tetuliiwo, musobola nnyo okuwangula ensiike ya leero kuba buli kimu ekyetaagisa mukirina ate omupiira mugumanyi,” Kayemba bwe yagumizza banne.

MUBS tegenda kubeera na muwuwuttanyi Moses Kasinga eyafuna obuvune wabula omutendesi Ali Zzinda mugumu nti Kasinga mu gw’okudding’ana ajja kuba akomyewo.

SLAU ne MUBS baakoma okusisinkana mu 2017 mu gy’ekibinja MUBS n’ewangula awaka ne ku bugenyi. Leero SLAU eyagala wiini esooka ku MUBS.

Oluvannyuma lw’ensiike ya leero, bajja kudding’ana wiiki ejja nga November 1, 2022, ku kisaawe e Nakawa okufunako ttiimu eyeesogga fayinolo. Emipiira gino giragibwa butereevu ku ttivvi za Vision Group okuli; Urban TV, Wan Luo, TV East, Bukedde TV 1 ne 2.