KCCA 39-37 NIC
Luweero 24-56 UPDF
Police 44-40 Africa Renewal University
Posta 34-63 Makindye Weeyonje
KCCA ebadde yakoma okuwangula NIC (43-41) mu gw’okudding’ana mu sizoni ya 2019. NIC yali ewangudde ensiike eyasooka (40-37) olwo KCCA n’egyesasuza. Ate sizoni ewedde baagwa maliri (44-44) ensiike zombi awaka ne ku bugenyi.

Norah Lunkuse Owa Kcca Mu Maaso Ne Florence Adunia Owa Nic(1)
Ensiike yaabwe esoose sizoni eno KCCA egitandise na buwanguzi etandise okwogeza abawagizi obwama nti yandibeera sizoni yaabwe okusitukira mu kikopo kya liigi omulundi ogusookedde ddala mu byafaayo.

Shadia Nassanga Ssegujja Owa Kcca Ku Kkono Ne Joan Nampungu Owa Nic
Ali Mugisha omumyuka w’omutendesi wa NIC yategeezezza nga ttiimu ekyalinamu obunafu ku lugoba oluteebi wabula ejja kutereera ate n’alabula KCCA obuteeyibaala kuba ebakubidde ku lukisakisa.

Irene Eyaru Owa Kcca Ng'akununkiriza Omupiira(1)
NIC ekyakulembedde liigi n’obubonero 12 ate KCCA yasembedde mu kifo ekyokusatu n’obubonero 8.