Ebyemizannyo

KCCA emezze NIC mu liigi y'okubaka

WIIKENDI eddugalidde National Insurance Corporation (NIC) bakyampiyoni ba liigi y’okubaka mu ggwanga emirundi 21 bwe baakubiddwa KCCA (39-37) ekyamenyeewo likodi ya myaka esatu nga tekubwamu.

KCCA emezze NIC mu liigi y'okubaka
By: Gerald Kikulwe, Journalists @New Vision

KCCA 39-37 NIC

Luweero 24-56 UPDF

Police 44-40 Africa Renewal University

Posta 34-63 Makindye Weeyonje

KCCA ebadde yakoma okuwangula NIC (43-41) mu gw’okudding’ana mu sizoni ya 2019. NIC yali ewangudde ensiike eyasooka (40-37) olwo KCCA n’egyesasuza. Ate sizoni ewedde baagwa maliri (44-44) ensiike zombi awaka ne ku bugenyi.

Norah Lunkuse Owa Kcca Mu Maaso Ne Florence Adunia Owa Nic(1)

Norah Lunkuse Owa Kcca Mu Maaso Ne Florence Adunia Owa Nic(1)

Ensiike yaabwe esoose sizoni eno KCCA egitandise na buwanguzi etandise okwogeza abawagizi obwama nti yandibeera sizoni yaabwe okusitukira mu kikopo kya liigi omulundi ogusookedde ddala mu byafaayo.

Shadia Nassanga Ssegujja Owa Kcca Ku Kkono Ne Joan Nampungu Owa Nic

Shadia Nassanga Ssegujja Owa Kcca Ku Kkono Ne Joan Nampungu Owa Nic

Ali Mugisha omumyuka w’omutendesi wa NIC yategeezezza nga ttiimu ekyalinamu obunafu ku lugoba oluteebi wabula ejja kutereera ate n’alabula KCCA obuteeyibaala kuba ebakubidde ku lukisakisa.

Irene Eyaru Owa Kcca Ng'akununkiriza Omupiira(1)

Irene Eyaru Owa Kcca Ng'akununkiriza Omupiira(1)

NIC ekyakulembedde liigi n’obubonero 12 ate KCCA yasembedde mu kifo ekyokusatu n’obubonero 8.