Abeemisinde balaajanye ku kisaawe ky'e Namboole

Okusalawo kino kiddiridde omwaka okutandika ng’ekisaawe ky’e Namboole awaategekerwanga emisinde gy’okwegezaamu tekisobola kukozesebwa olw’okuba kiri mu kuddaabirizibwa.

Abaddusi nga bavuganyiza mu kisawe e Namboole.
By Olivia Nakate
Journalists @New Vision
#Namboole #Abdallah Muhammed #Uganda Athletics Federation #Kyambogo

Nga omu ku kaweefube w’okulaba ng’abaddusi abawerako bayitawo okukiika mu misinde egy’enjawulo egiri ku ddaala ly’ensi yonna ne Afrika omwaka guno 2023, ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga kitandise kaweefube w’okulaba nga kitwala abaddusi abalina obusobozi ebweru w’eggwanga okuyitiramu eyo.

Okusalawo kino kiddiridde omwaka okutandika ng’ekisaawe ky’e Namboole awaategekerwanga emisinde gy’okwegezaamu tekisobola kukozesebwa olw’okuba kiri mu kuddaabirizibwa.

Ekisaawe ky’e Namboole kye kisaawe kyokka ekyakkirizibwa ekibiina emisinde mu nsi yonna abaddusi okufunirako obubonero obubatwala mu misinde egiri ku ddaala lya Afrika n’ensi yonna.

Abeemisinde kati batunuulidde kisaawe kya Kyambogo okutegekeramu empaka ez’enjawulo omwaka guno wadde ng’abaddusi bajja kuba tebasobola kutusizaawo budde bubatwala mu mpaka ez’amaanyi.

Omwogezi wa UAF, Abdallah Muhammed

Omwogezi wa UAF, Abdallah Muhammed

Omulimo gw’okuddaabiriza ekisaawe ky’e Namboole gwatandika mwaka guwedde nga gusuubirwa okuggyibwako engalo mu August w’omwaka guno.

Omwogezi w’ekibiina ekiddukanya emisinde mu ggwanga Abdallah Muhammed yategeezezza nti obutaba na kisaawe kiri ku mutindo kyakukosa omuwendo gw’abaddusi abanaayitamu okukiikirira eggwanga mu misinde egy’enjawulo.

“Tunuulidde okutwala abaddusi e Kenya okuvuganya mu mpaka ez’enjawulo okulaba nga batuusa ebipimo ebyetaagisa. Wabula obutaba na kisaawe kyakukosa nnyo abaddusi ab'embiro ennyimpi n’ez’akafubutuko, “Muhammed bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti abaddusi abalina ebitongole ebibassaamu ensimbi basobola nabo okweyamba okufuna empaka ez’enjawulo ne bayitiramu eyo.