Aba badminton balwana kuweza bazannyi bagenda mu Olympics

Mu z’abato eza Uganda International Juniors, abooluganda Akbar Oduka ne Ahmed Oduka abayizi ba Kibuli SS baalaze ttalanta nga Akbar yawangudde feeza mu nzannya za ssekinnoonu ate bwe yeegasse ne muganda we ne baawangula ogw’ekikomo mu nzannya za babiri ku babiri.

Husina Kobugabe ((ku kkono) eyawangudde ogw'ekikomo ) ne Brian Kasirye eyawangudde feeza mu mpaka za |Africa Thomas and Uber Cup e Lugogo.
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision
#badminton #Uber Cup #Lugogo Indoor Arena #Brian Kasirye #Husna Kobugabe

Abakulira omuzannyo gwa badminton mu ggwanga omwaka 2023 baagala kwongera ku bibala bye baafunye mu mukadde ogwa 2022. Bano bagamba nti basuubira okuzimbira ku bye baafunye basobole okutwala omuzannyo mu maaso. Okutandikawo ttiimu ya Uganda ey’abakazi n’okuwangula feeza mu mpaka za Thomas and Uber Cup eza Africa Championships mu February mu nsiitaano eyali mu Lugogo Indoor Arena, bimu ku bye beenyumirizaamu mu mwaka oguyise bye bagamba nti baagala kubyongerezaako.

Husna Kobugabe owa yunivasite ya Ndejje ne Brian Kasirye be bamu basinze okwetikka omumuli gwa badminton omwaka oguyise. Kasirye yakwata kyakubiri mu nzannya za ssekinnoomu ate Kobugabe n’awangula ogw’ekikomo. Omwaka guno bagamba nti baagala kubongerako n’okuvuganya mu mpaka ennene endala.

Aba Mbogo High bawangudde ekya Afrika.

Aba Mbogo High bawangudde ekya Afrika.

Mu z’abato eza Uganda International Juniors, abooluganda Akbar Oduka ne Ahmed Oduka abayizi ba Kibuli SS baalaze ttalanta nga Akbar yawangudde feeza mu nzannya za ssekinnoonu ate bwe yeegasse ne muganda we ne baawangula ogw’ekikomo mu nzannya za babiri ku babiri.

Kasirye ne Kobugabe era baabadde mu mizannyo gya Commonwealth nga be bokka abaasobodde okuwangulayo waakiri oluzannya, ekintu aba badminton kye bagamba nti baagala kukyongerako omwaka guno.

Kasirye yakomye ku luzannya olw’abazannyi 32 ate nga Kobugabe yakumye kulwa 16. Bano era beetabye mu mpaka za Egypt, Zambia, Botswana ne South Africa Internationals nga zonna za kwetegekera mizannyo gya All Africa Games 2023 ne Olympics Paris 2024. Mu South Africa International, Kasirye yawangudde gwa kikomo.

Abazannyi ba ttiimu y'eggwanga eya badminton ey'abakazi.

Abazannyi ba ttiimu y'eggwanga eya badminton ey'abakazi.

Abaliko obulemu nabo baayase:

Uganda yategese empaka za Uganda International Para Badminton wamu n’eza Africa ezaabumbujjidde e Lugogo mu September. Abazannyi Hassan Mubiru, Ali Mukasa Ritah Asiimwe, Rose Nansereko be baasinze okwaka. Uganda yawangudde emidaali gya feeza ena n’egy’ekikomo 16. Ate mu za Africa ezazzeeko Uganda yaziwangudde nga zeetabiddwaamu amawanga 11. Baawangudde zaabu ttaano, feeza munaana n’ekikomo 13.

Ttiimu ya Uganda ey’abaliko obulemu yatutte abazannyi bana mu mpaka z’ensi yonna ezaabadde e Japan eza World Para Badminton Championships nga November 6-13 wadde nga tekuli yawangudde okujjako okufuna obumanyirivu.

Abakulira ekibiina:

Simon Mugabi akulira emirimu mu Uganda Badminton Association (UBA) ategeezezza nti obuwanguzi bwe baatuuseeko mu mitendera gyonna bubawa essuubi nga beetegekera Olympics 2024.

“Twagala okulaba nga Uganda eyisaamu abazannyi abawera abanaafuna obubonero obubatwala mu Paris. Wabula era tetwerabira mizannyo gya All Africa e Ghana mu August omwaka ogujja,” bw’ategeezezza.

Aba badminton batenderezza enkulakulana essiddwaawo kiraabu ya CFK Badminton Academy abaazimba ekisaawe omutendekerwa abazannyi n’empaka ezitali zimu okutumbula omuzannyo. Pulezidenti wa UBA, Annet Nakamya agambye nti omuzannyo gwa badminton gujjumbiddwa kkampuni nnyingi agavuddeyo okussaamu ensimbi naddala mu mpaka ez’ensi yonna.