Uganda ewangudde empaka za badminton (ttena ey’ekyoya) ezaamaze ennaku nnya nga ziyinda mu Lugogo Indoor Arena. Yakubye India ne Kenya buli emu (2-0) mu mpaka ez’omulundi ogwokutaano ezaategekeddwa Uganda Badminton Association (UBA).
India yakutte kyakubiri oluvannyuma lw’okukuba Kenya (2-0) mu mpaka ezikyasinze obunene nga zeetabiddwaamu abazannyi abasoba mu 1000. Kenya ye yasemba okuwangula empaka zino mu 2019.
Mahad Twaha akulira ebyenkolagana n’ebitongole ebirala mu City Tyres, yasiimye entegeka za UBA eyasobodde okuddukanya obulungi empaka zino ezigobereddwa mu nsi yonna ku mikutu egy’enjawulo era n’asuubiza nti n’omwaka ogujja beetegefu okuziteekamu ensimbi.
Mbogo High Girls
“Tukolaganye ne UBA kati emyaka 15 era tubasiima olw’obulambulukufu n’okukwata obulungi ensimbi. Tusiima ebitongole nga ekya Indian Association of Uganda n’ebirala,” bwe yategeezezza.
Akulira emirimu mu kibiina kya badminton, Simon Mugabi yategeezezza nti zino ze mpaka ezikomekkerezza omwaka era nti bazisuubira okusingawo obunene omwaka ogujja.
“Zibaddemu ttiimu z’amawanga, amasomero, yunivasite, abagwira, ebitongole n’abazannyi ab’amannya. Twebaza aba City Tyres abataddemu ensimbi,” bwe yategeezezza.
Ye pulezidenti wa UBA, Annet Nakamya yategeezezza nti empaka zibayambye okumanya abazannyi abalungi mu ggwanga okuviira ddala mu masomero era nga balabye n’abapya be basobola okuyita ku ttiimu y’eggwanga.
Makerere University Team
“Empaka za City Tyres zireese abazannyi bangi ddala era tuganyuddwaamu kuba zigasse emitendera gyonna omuva abazannyi. Tugenda kufuba omwaka ogujja tuyite amawanga mangi nga Tanzania, South Sudan ne Rwanda mu mpaka zino,” Nakamya bwe yategeezezza.
Amasomero ageemaze eggayang’ano mu balenzi nga Kibuli SS yakyetisse n’eddirirwa Kakungulu Memorial. Mu bawala, Mbogo High yaddiriddwa Rubaga Girls, mu yunivasite aba Makerere be bakyampiyoni nga baddiriddwa Victoria ate mu bitongole aba City Tyres be baawangudde ne baddirirwa Supreme ng’ebitongole 10 bye byavuganyizza.
Abawanguzi baafunye ebikopo nga bassekinnoomu ne ttiimu ate aba pulofeesono ne bafuna ensimbi.