Awangudde zaabu 2 mu mpaka za badminton

Bannayuganda abalala abaawangudde emidaali mu mpaka zino ezeetabiddwaamu abazannyi abagwira 46 n’aba kuno 40 okuva mu mawanga 16 ye, Husina Kobugabe, Ismail Mungufeni, Asumpta Owomugisha, Gladys Mbabazi, Expedito Emuddu ne Augustus Owinyi nga buli omu yawangudde gwa kikomo.

Abazannyi ba Uganda abaawangudde emidaali egy'ekikomo.
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision
#Brian Kasirye #United Arabs Emirates #Somi Romdhani #Muzafar Lubega #Expedito Emuddu

Omuzannyi wa ttena ey’ekyoya, Brian Kasirye asitukidde mu midaali gya zaabu ebiri mu mpaka za Kampala International Future Series eza badminton ezaabumbujjidde mu kisenge kya Lugogo Indoor Arena okumala ennaku nnya nga zaakomekkerezeddwa ku Ssande.

Kasirye yabuze okufa essanyu bwe yamezze munnansi wa United Arabs Emirates, Somi Romdhani ku bugoba (2-1).

Brian Kasirye ng'awuubira abawagizi e Lugogo.

Brian Kasirye ng'awuubira abawagizi e Lugogo.

“Ndi musanyufu okulaba nga nze Munnayuganda asoose okuwangula empaka eziri ku mutendera gw’ensi yonna wano awaka bukya zitandika mu 2012. Ate ekirala nti nfunye obubonero bungi okulinnyisa emikisa okuyitamu okukiikirira eggwanga mu mizannyo gya Paris Olympics 2024,” Kasirye be yategeezezza.

“Mbadde n’obuwagizi okuva mu b’oluganda ne Bannayuganda abalala. Kati ntunuulidde mpaka ezitandika ku Lwokusatu eza Uganda International Future Series era e Lugogo,” bwe yayongeddeko.

Zaabu eyookubiri yagiwangudde yeegasse ne Muzafar Lubega mu za babiri ku babiri abasajja.

Bannayuganda abalala abaawangudde emidaali mu mpaka zino ezeetabiddwaamu abazannyi abagwira 46 n’aba kuno 40 okuva mu mawanga 16 ye, Husina Kobugabe, Ismail Mungufeni, Asumpta Owomugisha, Gladys Mbabazi, Expedito Emuddu ne Augustus Owinyi nga buli omu yawangudde gwa kikomo.

Aba zaabu bafunye doola za Amerika 480 (mu za Uganda 1,800,000/-) aba feeza doola 360 (eza Uganda 1,300,000/-) ate ab’ekikomo ne bafuna doola 270 (eza Uganda 1,000,000/-).