Aba Badminton beewera kusitukira mu kikopo ky'empaka za Africa

TTIIMU y’eggwanga eya Badminton ewera kusitukira mu mpaka za Afrika eza ‘Badminton All Africa Senior Championship’.

Aba Badminton beewera kusitukira mu kikopo ky'empaka za Africa
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo

Uganda y’egenda okukyaza empaka zino mu kisaawe kya MTN Arena e Lugogo nga zakubaawo wiiki ejja wakati wa February 14 ne 20.

 

‘Ttiimu Uganda’ erimu abazannyi 12 nga 6 bakyala era ewera kusitukira mu mpaka zino. Husina Kobugabe kaputeeni wa ttiimu y’abakazi agamba balina buli kimu okwetikka empaka zino kuba bafunye okutendekeddwa okumala.

 

Abakyala abalala abali mu ‘Team Uganda’ kuliko Tracy Naluwooza, Fadhila Shamika, Rajab Natasha, Sharifah Wanyana ne Brenda Awori. Brian Kasirye waakukulemberamu ttiimu y’abasajja omuli abazannyi okuli Israel Wanagalya, Friday Atamani, Amos Muyanja, Kenneth Mwambu ne Paul Makande.